Isaiah 60:12-14

12 aKubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.

13 b“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
emiti egy’ettendo egy’enfugo,
omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,
ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 cBatabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
Copyright information for LugEEEE